Pular para o conteúdo
Publicidade

Redentor

Por Bíblia Online

Deus é o nosso Redentor. Ele nos resgatou da escravidão do pecado, nos libertou das cadeias e nos comprou com preço altíssimo — o sangue de seu Filho.

Liberdade em Cristo

Cristo nos libertou para a liberdade. Aquele a quem o Filho liberta é verdadeiramente livre. O Redentor quebra toda cadeia.

Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.

Eddembe mu Kristo

Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,

kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,

antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.

Okulangirira eddembe eri abawambe,

n’abasibe bateebwe

bave mu makomera.

Obulamu Obuva mu Mwoyo

Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.

Redenção e salvação

Deus nos redimiu por amor. Ele apagou nossas transgressões e nos salvou não por mérito nosso, mas por sua misericórdia.

Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula."

Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, Omulokozi) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe."

eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.

Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo.

Refúgio e proteção

O Redentor é nosso refúgio e fortaleza. Ele livra os que clamam, sara os quebrantados e se alegra por nós com cântico.

Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,

ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;

ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.

Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,

leka nneme kuswazibwa.

Ndokola mu butuukirivu bwo.

Entuuko zange ziri mu mikono gyo;

ondokole mu mikono gy’abalabe bange

n’abangigganya.

Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira

n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.

Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,

naye byonna Mukama abimuyisaamu.

Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,

Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;

otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe

olw’erinnya lyo.

Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu

nga nkutendereza,

nze gw’onunudde!

Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,

akuuma obulamu bw’abamwesiga,

n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.

Omponye, Ayi Mukama,

emimwa egy’obulimba,

n’olulimi olw’obukuusa.

Vestidos de salvação

O Redentor nos veste com roupas de salvação e manto de justiça. Ele se alegra por nós e nos cobre com seu amor.

Nsanyukira nnyo mu Mukama,

emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.

Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi

era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,

ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,

ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.

Mukama Katonda ali naawe,

ow’amaanyi alokola:

alikusanyukira,

alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,

alikusanyukira n’okuyimba."

Seja o primeiro