Reino dos céus
O Reino dos Céus é comparado por Jesus a tesouros, sementes e redes. Através de parábolas, Ele revelou os mistérios de um Reino que já está entre nós, mas que se consumará na eternidade.
O valor incomparável do Reino
O Reino dos Céus é como um tesouro escondido ou uma pérola de grande valor. Quem o encontra, vende tudo para possuí-lo.
"Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
"Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.
Olugero lw’Akaweke ka Kaladaali n’olw’Ekizimbulukusa
N’abagerera olugero olulala ng’agamba nti, "Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akaweke ka kaladaali, omusajja ke yasiga mu nnimiro. Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo."
N’abongerayo olugero olulala nti, "Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna."
Parábolas do Reino
Jesus ensinou sobre o Reino mediante parábolas que revelam seu crescimento, seu juízo e a separação final entre justos e injustos.
N’abagerera olugero olulala nti, "Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.
"Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’
"Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’
"N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano. Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ "
Okunnyonnyola Olugero lw’Eŋŋaano y’omu Nsiko
Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.
N’abannyonnyola ng’agamba nti, "Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi. Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika.
"Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu, babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji. Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
Olugero lw’Akatimba
"Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji."
Quem herda o Reino
Os humildes, os pobres de espírito e as crianças são herdeiros do Reino. Mas é difícil para os ricos entrarem nele.
"Balina omukisa abaavu mu mwoyo,
kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.
Balina omukisa abali mu nnaku,
kubanga abo balisanyusibwa.
Balina omukisa abeetoowaze,
kubanga abo balisikira ensi.
Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu
kubanga abo balikkusibwa.
Balina omukisa ab’ekisa,
kubanga abo balikwatirwa ekisa.
Balina omukisa abalina omutima omulongoofu,
kubanga abo baliraba Katonda.
Balina omukisa abatabaganya,
kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,
kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe."
"Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze. Musanyuke era mujaguze kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, ne bannabbi ab’edda bwe baayigganyizibwa bwe batyo."
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, "Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?"
Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. N’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu."
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Era mbategeeza nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!"
Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, n’okugamba ne bagamba nti, "Kale ani ayinza okulokolebwa?"
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna."
Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala?
Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
Buscar o Reino acima de tudo
Jesus ensinou que devemos buscar primeiro o Reino e sua justiça. Nem todo que diz 'Senhor, Senhor' entrará — só quem faz a vontade do Pai.
"Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala.
Noolwekyo oyo amenya etteeka erisembayo obutono, n’ayigiriza n’abalala okukola bwe batyo, y’alisembayo mu bwakabaka obw’omu ggulu. Naye mbalabula nti Okuggyako ng’obutuukirivu bwammwe businga obw’Abafalisaayo n’obw’abawandiisi, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu."
Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,
Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.
Obwakabaka bwo bujje.
By’oyagala bikolebwe mu nsi,
nga bwe bikolebwa mu ggulu.
Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama
Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, "Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka."
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, "Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde."
Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’
Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana. Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala.
A herança eterna
O Reino dos Céus é inabalável e eterno. Deus nos chama a fazer firme a nossa vocação e eleição para entrar nesse Reino.
Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. Kubanga ddala, "Katonda waffe, gwe muliro ogwokya."
Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
Kale, abooluganda mweyongerenga okunywerera mu kulondebwa kwammwe ne mu kuyitibwa kwammwe. Kubanga bwe munaakolanga bwe mutyo temulyesittala n’omulundi n’ogumu. Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
"Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.
Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.