Reino
O Reino de Deus é o tema central da pregação de Jesus. Desde o início de seu ministério, Ele proclamou: 'Arrependei-vos, porque é chegado o Reino dos céus.'
O anúncio do Reino
Jesus inaugurou seu ministério proclamando a chegada do Reino. Ele convida todos ao arrependimento e à fé nessa nova realidade.
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, "Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde."
ng’agamba nti, "Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri."
Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’
Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
alangirira emirembe,
aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
agamba Sayuuni nti, "Katonda wo afuga."
A natureza do Reino
O Reino de Deus é governo soberano do Senhor sobre todas as coisas. Ele é o Rei eterno, imortal e invisível.
Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.
Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,
n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,
kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.
Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,
era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
y’alitulokola.
Yuda Kabaka w’Ensi ow’Oku Ntikko
Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.
Entrar no Reino
Para entrar no Reino é preciso nascer de novo, tornar-se como criança e buscar primeiro a justiça de Deus acima de tudo.
Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda."
Yesu kwe kumuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako.
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu."
Balina omukisa abayigganyizibwa olw’obutuukirivu,
kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe."
Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga."
Cidadãos do Reino
Os cristãos são concidadãos dos santos e membros da família de Deus, chamados a viver dignamente do Reino que receberam.
Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
"Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.
Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.
Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.