Relacionamentos
Os relacionamentos são centrais na vida cristã. A Bíblia orienta sobre amizade, casamento, família e convivência, sempre tendo o amor como fundamento de toda relação.
Amor e amizade
O amigo ama em todo tempo. A Bíblia valoriza amizades verdadeiras que edificam, fortalecem e desafiam ao crescimento mútuo.
Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,
era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.
Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
n’omuntu bw’abangula muntu munne.
Ababiri basinga omu,
kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
Kubanga singa omu agwa,
munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
bw’agwa tabaako amuyimusa.
Omu awangulwa mangu,
kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.
Casamento e família
O casamento é aliança sagrada. O marido deve amar a esposa como Cristo amou a Igreja, e ambos devem cultivar respeito e submissão mútua.
Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye,
N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka.
Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo.
Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
Mukama Katonda n’ayogera nti, "Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira."
Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba.
Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
toliiko bbala na limu.
Convivência saudável
Os relacionamentos florescem quando tratamos os outros como gostaríamos de ser tratados, com amor crescente e caráter maduro.
Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi."
ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ "
Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala,
Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?
Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo.
Noolwekyo mufubenga nnyo, okukkiriza kwammwe mukwongereko obulungi, ne ku bulungi mwongereko okutegeera, ne ku kutegeera mwongereko okwefuganga, ne ku kwefuganga mwongereko obugumiikiriza, ne ku bugumiikiriza mwongereko okutya Katonda, ne ku kutya Katonda mwongereko okufaayo ku booluganda abalala bonna ne ku kufaayo ku booluganda bonna abalala mwongereko okwagalananga.
Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.