Publicidade

Repouso e férias

Por Bíblia Online

Deus criou o descanso como parte da vida. O sábado, o repouso e até as férias refletem a confiança de que Deus sustenta todas as coisas — mesmo quando paramos.

O descanso como ordenança

Deus descansou no sétimo dia e nos convidou a fazer o mesmo. O descanso sabático é um presente de Deus para restauração do corpo e da alma.

Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye.

"Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,

obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,

bw’onooluyitanga olw’essanyu

era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,

singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe

oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,

awo olifuna essanyu eriva eri Mukama

era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu

era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo"

Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.

Sono e paz

Ditar-se em paz e dormir tranquilamente é bênção do Senhor. Quem confia nele dorme sem medo e acorda renovado.

Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;

kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,

ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,

kubanga Mukama ye ampanirira.

Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,

ate n’olwawo n’okwebaka

ng’okolerera ekyokulya;

kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

Tootyenga ntiisa ya kiro,

wadde akasaale akalasibwa emisana;

Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya,

weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.

Otulo tuwoomera omupakasi

ne bw’aba agabana bitono oba bingi.

Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,

tebumuganya kwebaka.

Descanso e segurança

No repouso, encontramos segurança. Deus guarda os justos, e mesmo no silêncio da noite, sua paz nos protege e restaura.

Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;

olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.

Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,

era bangi abalikunoonyaako omukisa.

Ayingira mu mirembe

n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,

ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-