Descansar no Senhor
Descansar no Senhor é um ato de fé. Em um mundo agitado, Deus nos convida a entregar nossas ansiedades, aquietar o coração e confiar plenamente em sua provisão e cuidado.
O convite ao descanso
Jesus convida os cansados e sobrecarregados a irem a Ele e encontrar descanso para as suas almas. O jugo dele é leve.
"Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa."
Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.
Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
Confiança e paz
Quem confia no Senhor encontra paz perfeita. A ansiedade perde o poder quando entregamos tudo nas mãos do Deus soberano.
Mukama alikuuma mirembe
oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
"Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
Esperar no Senhor
Esperar no Senhor renova as forças. A Bíblia nos ensina que aquietar-se diante de Deus e confiar em seu tempo é marca da maturidade espiritual.
Lindirira Mukama.
Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
Weewaawo, lindirira Mukama.
Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
ajja kukuwanirira;
kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
eri oyo amunoonya.
Kirungi omuntu okulindirira
obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
A fidelidade de Deus
Deus é fiel. Seus planos são de paz e esperança. Podemos descansar sabendo que Ele guarda e sustenta quem nele confia.
Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama. "Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira," bw’ayogera Mukama. "Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama,
nga Mukama ly’essuubi lye.
Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
era teguliremwa kubala bibala.
Mukama n’addamu nti, "Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga."
era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.
N’agamba Yuda nti, "Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi." Ne bazimba era ne bagaggawala.
Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, "Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda."