Publicidade

Seguir a Jesus

Por Bíblia Online

Seguir a Jesus é o convite mais transformador da Bíblia. Jesus chamou pescadores, cobradores de impostos e pessoas comuns para deixar tudo e segui-lo. Esse chamado continua vivo hoje.

O chamado de Jesus

Jesus disse: 'Segue-me'. Esse convite simples e poderoso mudou a vida de pescadores, publicanos e pessoas comuns ao longo da história.

Awo Yesu, n’abagamba nti, "Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu." Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

Okuyitibwa kwa Matayo

Awo Yesu bwe yava mu kifo ekyo n’alaba omuntu, erinnya lye Matayo, ng’atudde mu kifo we basolooleza omusolo, n’amugamba nti, "Ngoberera." Bw’atyo naye n’asitukiramu n’agoberera Yesu.

Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri

Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, "Ngoberera."

Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, "Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga."

Yesu n’amugamba nti, "Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe."

N’agamba omusajja omulala nti, "Ngoberera."

Omusajja n’addamu nti, "Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange."

Yesu n’amugamba nti, "Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda."

N’omulala n’agamba Yesu nti, "Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange."

Naye Yesu n’amuddamu nti, "Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda."

O custo do discipulado

Seguir a Jesus exige renúncia. É preciso tomar a cruz diariamente, deixar tudo para trás e amar a Cristo acima de qualquer outro vínculo.

Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere.

"Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange. Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

Awo Peetero n’agamba Yesu nti, "Tweresa byonna ne tukugoberera."

Yesu n’amuddamu nti, "Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’aboluvannyuma baliba aboolubereberye."

Caminhar com Cristo

Quem segue a Jesus não anda em trevas, mas tem a luz da vida. Ele nos convida a crescer nele e a servir como Ele serviu.

Yesu gwe Musana gw’Ensi

Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, "Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu."

Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza."

Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.

"Kristo teyakola kibi

wadde okwogera ebyobukuusa."

Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza.

Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa.

Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-