Sonhos
Sonhos aparecem em toda a Bíblia como meio de revelação divina. Deus falou através de sonhos a patriarcas, profetas e servos, mas também alertou contra falsos sonhadores.
Sonhos como revelação divina
Deus usou sonhos para comunicar sua vontade a homens e mulheres ao longo da história bíblica, revelando caminhos e mistérios.
n’abagamba nti, "Muwulirize ebigambo byange:
"Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda,
nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba
njogera naye mu birooto.
"Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
abakadde baliroota ebirooto,
n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, "Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,
" ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
n’abakadde baliroota ebirooto.
Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, "Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?"
Danyeri n’addamu kabaka nti, "Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.
Sonhos na história da Bíblia
De José no Egito a José pai de Jesus, Deus guiou a história da salvação através de sonhos, protegendo e dirigindo seu povo.
Ne bamuddamu nti, "Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula." Awo Yusufu n’abagamba nti, "Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire."
Falaawo n’agamba Yusufu nti, "Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula." Yusufu n’addamu Falaawo nti, "Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo."
Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, "Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe."
Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, "Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo."
Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
twafaanana ng’abaloota.
Sabedoria sobre sonhos
A Bíblia ensina discernimento: nem todo sonho vem de Deus. Devemos entregar nossos planos ao Senhor e confiar na direção dele.
Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,
naye anaatuukirizanga entegeka zo.
Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, "Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga" (bakatonda ggwe b’otomanyangako), towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.
"Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe?
Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono," bw’ayogera Mukama.
Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.
Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.