Superação
Superar desafios, dificuldades e tentações faz parte da caminhada cristã. A Bíblia nos garante que, em Cristo, somos mais que vencedores em todas as circunstâncias.
Vitória em Cristo
Jesus já venceu o mundo. Nele temos coragem, paz e a certeza de que nenhuma adversidade poderá nos derrotar definitivamente.
"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."
"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."
Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala.
Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe.
Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo by’atulagira okukola. Okukola by’atulagira si kizibu, kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi n’okwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe. Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?
Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?
Ne bamuwangula
olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
nga tebatya na kufa.
Superando o mal com o bem
O cristão vence o mal não com violência, mas com o bem. O amor, a fé e a perseverança são as armas da superação.
Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.
Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.
Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna.
Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo. Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.
Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange.
Força e coragem divina
Deus é nosso escudo e fortaleza. Quando o medo tenta nos paralisar, a presença do Senhor nos fortalece e nos encoraja a prosseguir.
Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
n’oswaza abo abatuyigganya.
Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.
Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi."
Kubanga Mukama Katonda wammwe y’anaagendanga nammwe okubalwanirira ng’alwanyisanga abalabe bammwe, n’okubawanga mmwe obuwanguzi."
Mukama alikuuma mirembe
oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.
Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.
Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.
Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.
Resistindo a tentação
A armadura de Deus nos protege contra as investidas do mal. Resistir ao diabo, vigiar e orar são essenciais para a superação espiritual.
Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo,
kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.
"Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona." Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. Temuwanga Setaani bbanga.
Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.
Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, "Katonda ye yankemye," kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.
Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.
Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi.
Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira.
Perseverança até o fim
A corrida da fé exige perseverança. Devemos lançar fora todo peso e olhar para Jesus, o autor e consumador da nossa fé.
Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa,
Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.
Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.
Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza.
Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya.
Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala?
Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina.
Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani.
Descanso e renovação
Jesus convida os cansados e sobrecarregados a descansar nele. Sua graça é suficiente para nos renovar em meio às tribulações.
"Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,
"Sirikuleka
era sirikwabulira n’akatono."
Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda."
N’abagamba nti, "Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa."
Bwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, "Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa."
Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi.
Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu."
Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:
leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy’oli;
mutuukirivu era muwanguzi;
muwombeefu era yeebagadde endogoyi,
endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.
Baana bange abaagalwa,
mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
kubanga mutegedde Kitaffe.
Mbawandiikidde mmwe abakulu
kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
kubanga muli ba maanyi
era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
era muwangudde omubi.
Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.
Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, "Bombi balifuuka omubiri gumu." Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.