Pular para o conteúdo
Publicidade

Trabalhar para Deus: o que significa na prática?

O que significa trabalhar para Deus

Trabalhar para Deus não significa apenas exercer um ministério dentro da igreja, mas realizar qualquer atividade diária com dedicação, como quem serve a Cristo e não a patrões humanos. Na perspectiva bíblica, a rotina profissional, a honestidade no cotidiano e o serviço aos outros são formas concretas de adoração.

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;(Abakkolosaayi 3:23,24)

Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.(1 Basessaloniika 4:11,12)

O cristão que trabalha para Deus busca aprovação moral e prática diante do Senhor, unindo o conhecimento da Palavra à ação no dia a dia.

Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.(2 Timoseewo 2:15)

Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.(Yakobo 1:22)

Salvos pela graça para praticar boas obras

A Bíblia estabelece que o trabalho e as boas obras não compram o favor divino nem geram salvação. A justificação diante de Deus decorre exclusivamente da fé em Cristo.

Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.(Abaggalatiya 2:16)

As boas obras são o resultado e a finalidade prática de uma vida transformada, e não o seu preço. Deus capacita o crente com generosidade e recursos para que ele viva de modo útil e irrepreensível no meio em que está inserido.

Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.(Abaefeso 2:10)

Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,(2 Abakkolinso 9:8)

Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.(Abafiripi 2:12-16)

Cooperadores de Deus na Grande Comissão

Trabalhar para Deus também envolve participar diretamente da expansão do Seu Reino. Os cristãos atuam como cooperadores do Senhor, encarregados de proclamar o evangelho e ensinar novos discípulos.

Kubanga ffe tuli bakozi abakolera awamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.(1 Abakkolinso 3:9)

Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.(Matayo 28:19)

Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.(Makko 16:16)

Esse serviço é exercido com senso de responsabilidade e reverência, lembrando que cada indivíduo prestará contas da forma como viveu e daquilo que produziu.

Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi.(2 Abakkolinso 5:10)

Seja o primeiro

Este artigo te tocou? Faça uma oração!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.