Tristeza
A tristeza faz parte da experiência humana, mas a Bíblia nos assegura que Deus está perto dos que sofrem. Ele enxuga as lágrimas e transforma a dor em esperança.
Deus consola os aflitos
O Senhor está perto dos quebrantados de coração. Mesmo no vale mais escuro, sua presença é refúgio e consolo para a alma que chora.
Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
Mukama ayagala abatuukirivu.
Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
n’okusinda kwange okuwulira.
Balina omukisa abali mu nnaku,
kubanga abo balisanyusibwa.
"Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama.
A alegria virá
A dor tem prazo de validade. A manhã de alegria sempre vem depois da noite de choro. Deus promete transformar o luto em dança.
Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, "Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."
Tebaliddayo kulumwa njala
wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
wadde ekyokya ekirala kyonna;
kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe."
nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.
Entregando a dor a Deus
Podemos lançar sobre o Senhor toda nossa ansiedade e tristeza, porque Ele cuida de nós com ternura e não nos abandona.
Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka."
Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
O choro e o arrependimento
Há tristezas que produzem arrependimento e conduzem à vida. O choro diante de Deus é acolhido e transformado em bênção.
Mukama kyava agamba nti,
"Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga."
Omuzabbibu gukaze
n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.
Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: n’agamba nti,
"Nazaalibwa sirina kantu
era bwe ntyo bwe ndiddayo.
Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo,
erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe."
Engero za Sulemaani:
Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;
amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.
Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
era weggyeko emitawaana mu ggwe,
kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.
Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa.