Vaso
A metáfora do vaso é uma das mais belas da Bíblia. Assim como o oleiro molda o barro, Deus nos forma segundo seus propósitos, fazendo de nós vasos úteis para sua glória.
Nas mãos do oleiro
Deus é o Oleiro e nós somos o barro. Ele tem autoridade e sabedoria para nos moldar conforme sua vontade perfeita, e não devemos questionar sua obra.
Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, "Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange." Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, "Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?" bw’ayogera Mukama. "Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri.
Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, "Lwaki wammumba bw’oti?" Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?
"Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
Mufuula ebintu
ne birabika ng’omubumbi alowoozebwa okwenkanankana n’ebbumba.
Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti,
"Teyankola"?
Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti,
"Talina ky’amanyi"?
Vasos para honra
O cristão é chamado a ser um vaso de honra, purificado e preparado para toda boa obra. Nosso valor está em quem nos formou e no que carregamos.
Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa. Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.
Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.
Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
Moldados pela graça
Mesmo quando nos sentimos frágeis e imperfeitos, o poder de Deus se aperfeiçoa em nossa fraqueza. Ele nos restaura e nos renova continuamente.
"Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,
ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere,
bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
Mukaabe mulaajane mmwe abasumba,
mwevulunge mu ttaka, mmwe abakulu b’ebisibo.
Kubanga obudde bwammwe obw’okuttibwa butuuse
mujja kugwa mubetentebwe ng’ebibya eby’ebbumba.