Publicidade

Vícios

Por Bíblia Online

A Bíblia nos alerta contra os vícios e comportamentos destrutivos. Deus nos chama à liberdade em Cristo, não à escravidão de desejos e hábitos que consomem corpo e alma.

A escravidão do pecado

Todo vício é uma forma de escravidão. Jesus veio para libertar os cativos e restaurar a verdadeira liberdade dos filhos de Deus.

Yesu n’abaddamu nti, "Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi.

Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.

Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.

Abaana ba Ibulayimu

Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, "Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala. Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe."

Eddembe mu Kristo

Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu.

Resistência e domínio próprio

O fruto do Espírito inclui o domínio próprio. O cristão é chamado a ter controle sobre seus desejos, resistir à tentação e vigiar contra as obras da carne.

ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.

Ekibi eky’Obwenzi

Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.

Ekibi eky’Obwenzi

Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu.

Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

Tewali kukemebwa kubatuukako okutali kwa bantu; kyokka Katonda mwesigwa, kubanga taabalekenga kutuukibwako kukemebwa kwe mutayinza kugumira, naye anaabasobozesanga okubigumira, n’abalaga n’ekkubo ery’okubiwangula.

Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!"

Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.

Libertação e renovação

Em Cristo somos libertos de toda forma de dependência. Pela renovação da mente, aprendemos a discernir e rejeitar o que nos prende.

Ssaddaaka Ennamu

Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo. So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda.

Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi.

Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise, era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;

Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’Atuwa

Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.

Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,

naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.

O corpo como templo

Nosso corpo é templo do Espírito Santo. Devemos honrar a Deus com o corpo, fugindo da embriaguez, da imoralidade e de toda impureza.

Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe?

Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.

Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe.

Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,

era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.

Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olwokulwalalwala kwo.

Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.

Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya.

Omunnyo n’Omusana

"Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.

Totuganya kukemebwa

naye tulokole eri omubi.

Kubanga kyawandiikibwa nti,

" Nga bwe ndi omulamu,bw’ayogera Mukama,

buli vviivi lirinfukaamirira

era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ "

Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-