1 Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene1:1 Sossene alabika okuba nga ye mukulembeze w’ekkuŋŋaaniro ayogerwako mu Bik 18:17 owooluganda1:1 owooluganda kitegeeza mukkiriza munnange, 2 tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe; 3 ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.
Publicidade