23 naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, 24 naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. 25 Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
30 Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,