Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Abakkolinso 10:1-12

Okulabula ku Bakatonda Abalala

1 Abooluganda, musaana mutegeere nga bajjajjaffe bonna baakulemberwa ekire, era bonna ne bayita mu nnyanja, 2 bwe batyo bonna ne bakulemberwa Musa ne babatizibwa mu kire ne mu nnyanja. 3 Bonna baalyanga emmere y’emu ey’omwoyo, 4 era bonna baanywanga ekyokunywa kye kimu eky’omwoyo, kubanga bonna baanywanga mu lwazi olw’omwoyo olwabagobereranga era olwazi olwo yali Kristo. 5 Naye era abasinga obungi Katonda teyabasiima, bwe batyo ne bazikirizibwa mu ddungu.

6 Ebintu bino ebyabatuukako bitulabula obuteegomba bibi nga bo bwe baakola. 7 Temusinzanga bakatonda balala, ng’abamu ku bo bwe baali, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, "Abantu baatuula okulya n’okunywa ne basituka ne bakola effujjo." 8 Tetusaana kubeera benzi ng’abamu ku bo bwe baali, abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu ku bo ne bafa mu lunaku lumu. 9 Era tetusaana kukema Kristo ng’abamu ku bo bwe baakola, emisota ne gibazikiriza. 10 Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe baakola, ne battibwa omuzikiriza.

11 Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. 12 Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.