Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Abakkolinso 14:26-29,33,40

Byonna Bikolebwe mu Bulambulukufu

26 Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda. 27 Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula. 28 Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi w’ennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.

29 Kyokka abo aboogera eby’obunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ng’abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. 33 kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.

Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna,

40 Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.