14 Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.
Publicidade