Okuzuukira kw’Omubiri
35 Naye omuntu ayinza okubuuza nti, "Abafu bazuukizibwa batya?" Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 36 Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37 Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 38 Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo.
42 Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43 Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.
Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo,