42 Era bwe kiri mu kuzuukira. Omubiri guziikibwa nga gwa kuvunda, ne guzuukizibwa nga si gwa kuvunda. 43 Guziikibwa nga si gwa kitiibwa, naye ne guzuukizibwa nga gujjudde ekitiibwa. Guziikibwa nga munafu, naye guzuukizibwa nga gwa maanyi. 44 Guziikibwa nga mubiri bubiri, naye guzuukizibwa nga mubiri gwa mwoyo.
Kale obanga waliwo omubiri obubiri, era waliwo omubiri ogw’omwoyo,