12 Baana bange abaagalwa,
mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
13 Era nammwe abakulu, mbawandiikidde
kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.
Nammwe abavubuka, mbawandiikidde
kubanga muwangudde omubi.
Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,
kubanga mutegedde Kitaffe.
14 Mbawandiikidde mmwe abakulu
kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.
Mbawandiikidde mmwe abavubuka
kubanga muli ba maanyi
era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,
era muwangudde omubi.
Temwagalanga Nsi
15 Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.