Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Pedro 3

Abakyala ne ba Bbaabwe

1 Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. 2 Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa. 3 Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egyamajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egyebyambalo. 4 Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. 5 Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri ba bbaabwe. 6 Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.

Veja também