8 Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. 9 Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.
10 Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza.