33 n’abagamba nti, "Mutwale abaweereza1:33 Abaweereza mu nsonga eno kitegeeza eggye lya kabaka erimukuuma ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni. 34 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’ 35 Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda."
36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, "Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize. 37 Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!"
38 Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi1:38 Abakeresi n’Abaperesi baali bakuumi ba Dawudi ab’oku mwanjo. Baava Kuleete ne Bufirisuuti (2Sa 8:18) ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni.