3 Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we. 4 Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, "Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange." 5 N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.
Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, "Golokoka olye." 6 N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.
7 Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, "Golokoka olye, kubanga olugendo lunene." 8 Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.Mukama
12 Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa.
18 Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera."