Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Bassekabaka 19:4-8,11-13

4 Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, "Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange." 5 N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.

Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, "Golokoka olye." 6 N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.

7 Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, "Golokoka olye, kubanga olugendo lunene." 8 Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.Mukama

11 Mukama n’amugamba nti, "Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo."

Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 12 Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 Eriya bwe yaliwulira, n’abikka19:13 Eriya yabikka amaaso ge kubanga tewaali muntu eyatunuuliranga Katonda n’aba mulamu. amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.

Awo Mukama n’amugamba nti, "Okola ki wano Eriya?"

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.