Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Bassekabaka 19:4-8,12,15,16,18

4 Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, "Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange." 5 N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.

Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, "Golokoka olye." 6 N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.

7 Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, "Golokoka olye, kubanga olugendo lunene." 8 Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.Mukama

12 Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa.

15 Mukama n’amugamba nti, "Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli, 16 ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo. 18 Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.