8 Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.
Mukama Alabikira Eriya
9 Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, "Okola ki wano, Eriya?"
11 Mukama n’amugamba nti, "Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo."
Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 12 Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 13 Eriya bwe yaliwulira, n’abikka19:13 Eriya yabikka amaaso ge kubanga tewaali muntu eyatunuuliranga Katonda n’aba mulamu. amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.
Awo Mukama n’amugamba nti, "Okola ki wano Eriya?"