Dawudi Abuulirira Sulemaani
1 Dawudi bwe yali anaatera okufa, n’abuulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti, 2 "Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu, 3 era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna. 4 Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’