Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Bassekabaka 3:16-28

Sulemaani Asala Omusango Omuzibu

16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17 Omu ku bo n’amugamba nti, "Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18 Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.

19 "Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20 N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21 Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala."

22 Omukazi oli omulala n’agamba nti, "Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo."

Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, "Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange." Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.

23 Kabaka n’agamba nti, "Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ "

24 Awo kabaka n’agamba nti, "Mundeetere ekitala." Ne baleetera kabaka ekitala. 25 N’alyoka alagira nti, "Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala."

26 Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, "Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!" Naye omukazi oli n’agamba nti, "Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!"

27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, "Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina."

28 Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.