Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Bassekabaka 3:5,9-12,16,25,27,28

5 Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, "Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa."

9 Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?"

10 Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 11 Katonda n’amugamba nti, "Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 12 n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.

Sulemaani Asala Omusango Omuzibu

16 Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge.

25 N’alyoka alagira nti, "Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala."

27 Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, "Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina."

28 Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.