Sulemaani Azimba Yeekaalu
1 Mu mwaka ogw’ebina mu kinaana, abaana ba Isirayiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri, mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Sulemaani, mu mwezi ogwokubiri ogwa Zivu6:1 Zivu Omwezi gwa Zivu gwe gwa Maayi. Zivu mwezi gwakubiri mu Kalenda y’Ekiyudaaya, Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama.
2 Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, n’obugazi mita mwenda, n’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu. 3 Awayingirirwa mu maaso g’ekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ng’obugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ng’obugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya n’ekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu.
19 N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama. 20 Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu6:20 Ebipimo eby’omunda w’essinzizo byali emirundi ebiri mu bunene okusinga Awatukuvu w’Awatukuvu mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu (Kuv 26). Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose6:20 Zaabu ennongoose kabonero akalaga ekitiibwa kya Katonda, era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule.