Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Samwiri 1:10,11,15,18,20

10 Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda. 11 Ne yeeyama ng’agamba nti, "Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako."

15 Naye Kaana n’amuddamu nti, "Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.

18 N’ayogera nti, "Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go." Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu. 20 Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, "Kubanga namusaba Mukama Katonda."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.