22 Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, "Omwana bw’aliva ku mabeere1:22 Abaana baavanga ku mabeere nga wayiseewo emyaka esatu oba oluusi n’okusingawo, ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna."
23 Erukaana n’amuddamu nti, "Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye." Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.
24 Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo.