Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Samwiri 1:5,8,11,23,27,28

5 Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana. 8 Bba Erukaana n’amubuuza nti, "Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?"

11 Ne yeeyama ng’agamba nti, "Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako."

23 Erukaana n’amuddamu nti, "Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye." Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.

27 Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba. 28 Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda." Omwana n’asinzizanga Mukama Katonda eyo.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.