Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Samwiri 1:6,10,13-15,18,20

6 Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga.

10 Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda.

13 Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde. 14 Eri kyeyava amugamba nti, "Olikomya ddi okujjanga wano ng’otamidde? Ggyawo ettamiiro lyo."

15 Naye Kaana n’amuddamu nti, "Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.

18 N’ayogera nti, "Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go." Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu. 20 Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, "Kubanga namusaba Mukama Katonda."

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.