6 Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga. 7 Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya. 8 Bba Erukaana n’amubuuza nti, "Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?"
10 Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda.
13 Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde.
15 Naye Kaana n’amuddamu nti, "Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.
18 N’ayogera nti, "Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go." Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu.