Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi
1 Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, "Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka."
11 N’abuuza Yese nti, "Bano be batabani bo bokka?" Yese n’addamu nti, "Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga." Samwiri n’agamba Yese nti, "Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja."
12 N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, "Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo." 13 Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.