11 N’abuuza Yese nti, "Bano be batabani bo bokka?" Yese n’addamu nti, "Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga." Samwiri n’agamba Yese nti, "Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja."
12 N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, "Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo." 13 Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.