45 Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, "Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza. 46 Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. 47 Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe."