11 Sawulo n’atuma ababaka bagende bakuume ennyumba ya Dawudi, bamutte enkeera. Naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amulabula n’amugamba nti, "Bw’otodduke kiro kino, bwe bunaakya bajja kukutta." 12 Awo Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, n’adduka n’agenda ne yeekweka. 13 Mikali n’addira ekifaananyi ekyole n’akiteeka ku kitanda, n’akibikkako olugoye, n’assa n’ebyoya eby’embuzi ku mutwe gwakyo.
14 Awo Sawulo bwe yatumayo ababaka okuwamba Dawudi, Mikali n’abagamba nti, "Mulwadde." 15 Sawulo n’abatuma baddeyo bamulabe era n’abalagira nti, "Mumundeetere mu kitanda kye, mmutte." 16 Naye abasajja bwe bagenda yo, ne balaba ekifaananyi ekyole mu kitanda, nga ne ku mutwe kuliko ebyoya by’embuzi.
17 Sawulo n’abuuza Mikali nti, "Lwaki wannimbye bw’otyo, n’oleka omulabe wange okudduka, n’okuwona n’awona?" Mikali n’amuddamu nti, "Yaŋŋambye nti, ‘Bw’otondeke kugenda nzija kukutta.’ "
18 Awo Dawudi n’addukira eri Samwiri e Laama, n’amutegeeza byonna Sawulo bye yamukola. Ye ne Samwiri ne bagenda e Nayosi ne babeera eyo.