Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Samwiri 2

Okusaba kwa Kaana

1 Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,

"Omutima gwange gusanyukira Mukama;

amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.

Akamwa kange kasekerera abalabe bange,

kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo."

2 Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda

tewali mulala wabula ggwe;

tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

3 Toyogera nate nga weewaanawaana

wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,

kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,

era y’apima ebikolwa.

4 Emitego egy’abamaanyi gimenyebbwa

naye abanafu baweereddwa amaanyi.

5 Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere

naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.

Eyali omugumba azadde abaana musanvu,

n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.

6 Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;

atwala emagombe ate n’azuukiza.

7 Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;

atoowaza ate n’agulumiza.

8 Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;

asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;

n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.

Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.

9 Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,

naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;

kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.

10 Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;

alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.

Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;

aliwa kabaka we amaanyi,

era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.

Veja também