Mukama Ayita Samwiri
1 Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.
4 Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, "Samwiri, Samwiri!"
N’addamu nti, "Nze nzuuno." 5 N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, "Nze nzuuno, ompise." Naye Eri n’amuddamu nti, "Sikuyise, ddayo weebake."
6 Mukama n’addamu n’amuyita, "Samwiri!" Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, "Nze nzuuno, ompise." Naye Eri n’amuddamu nti, "Sikuyise, mutabani, ddayo weebake."
7 Samwiri yali tannategeera nga Mukama y’amuyita, nga n’ekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.
8 Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, "Nzuuno, ompise."
Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka. 9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti, "Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira." Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.
10 Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, "Samwiri! Samwiri!" Samwiri n’addamu nti, "Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira."