Pular para o conteúdo
Publicidade

1 Timoseewo 4:12-16

12 Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13 Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. 14 Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.

15 Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16 Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.