3 Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, 4 buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, 5 so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola. 6 Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa. 7 Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa.
Publicidade
Publicidade