3 Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, 4 atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. 5 Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. 6 Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. 7 Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.
8 Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. 9 Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga.