7 okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olw’obutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.
8 Emirundi esatu egy’enjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo. 9 Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, "Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu." Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.