6 Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa.
10 Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina.