Publicidade

2 Coríntios 9

6 Naye mujjukire nti, "Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene." 7 Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. 8 Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, 9 nga bwe kyawandiikibwa nti,

"Yasaasaanya, yagabira abaavu.

Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna."

10 Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-