Pular para o conteúdo
Publicidade

2 Ebyomumirembe 7:12-15

12 Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti,

"Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.

13 "Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli, 14 abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe. 15 Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.